Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,010 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Kkampuni za yinsuwa Ababaka zibawa panadol – LOP Mathias Mpuuga

August 22, 2023 · Mubiru Ali

Akulira Oludda oluwabula Gavumenti Hon. Mathias Mpuuga avuddeyo nategeeza Palamenti  nti Kkampuni za yinsuwa ezimu ezafunibwa Palamenti okubawa obuweereza bwa yinsuwa y’ebyobulamu eri Ababaka nti zibawa byoya byanswa nga zibawa Panadol yekka so nga ziweebwa ssente mpitirivu.

Okwogera bino abadde ayanukula omumyuuka wa Sipiika Thomas Tayebwa ku nsonga z’Omubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegiriinya gwebanenya obutagoberera mitendera gya Palamenti egiyitwamu okugenda okufuna obujanjabi ebweru w’Eggwanga singa Palamenti enaaba enamusasulira.