Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 996 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Kkampuni ya Russia tetugiwanga ku lukusa kukozesa kkamera za Poliisi – Minisita Otafiire

August 22, 2023 · Mubiru Ali

Minisita Kahinda Otafiire avuddeyo neyegaana ebigambibwa nti yakiriza kkampuniy ya Russia Joint Stock Company Global Security eyaweebwa eddimu lyokukola nnamba z’ebidduka eza digito okukozesa kkamera za Uganda Police Force enkettabikolwa oluvannyuma lw’Ababaka okwoleka obweralikirivu bwabwe nti Kkampuni eno yandiba ngeyingira mu byokwerinda by’eggwanga nga terina lukusa. Otafiire ategeezezza nti talina kyamanyi ku Kkampuni eno nti era Minisitule ye gyatwala ne Poliisi tabasisinkananga ku bakungu kuva mu kkampuni eno yadde nga Minisitule ye ne Poliisi basaale nnyo mu byokwerinda bya Uganda.