Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,041 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Kkampuni ezaagala okulima enjaga y’eddagala ziri mu bweralikirivu

March 1, 2020 · Mubiru Ali

Gavumenti okulwawo okulambika ebinagobererwa mu kulima enjaga y’eddagala kireesewo okutya n’obweralikirivu mubaagala okugirima nga balowooza nti wandibaawo abakungu mu Gavumenti abaagala okwekomya sinakinde okulemesa buli kimu.
Minisita w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng yavaayo nategeeza omwaka oguwedde nga Gavumenti bweyavaayo n’amateeka agalina okugobererwa Kkampuni zonna ezaagala okulima enjaga y’eddagala.
Eky’okulabirako, Abantu oba Kkampuni zonna ezaagala okulima enjaga y’eddagala zirina okubeera n’entandikwa ya bukadde bwa ddoola butaano bwe buwumbi 18 wamu n’omusingo mu bbanka gwa buwumbi buna.
Gavumenti yetaaga Kkampuni zonna okubeera ne ‘Tax Clearance Certificates’ okuva mu kitongole ekiwooza ky’omusolo mu Ggwanga ekya @Uganda Revenue Authority, Trading License, wamu n’obujulizi obwoleka okwongera omutindo omutindo ku njaga wamu n’ebitabo bya bizineesi ebibaliddwa obulungi.
Wabula bino byonna bukyali mu ngero kuba tebiteekebwa nga munkola.
Abamu ku bakugu bagamba nti okulima enjaga y’eddagala kujja kutondawo emirimu eri Abantu nga emitwalo kumi wamu n’obutitimbe bw’ensimbi okuva mu misolo eri Gavumenti.
Wabula waliwo Kkampuni ezatandika okulima edda enjaga eno nga; Industrial Hemp Uganda Ltd, Kkampuni y’obwannanyini esangibwa e Hima, mu Disitulikiti y’e Kasese okuva mu 2017 ebadde egirima nga ekolera wamu ne Industrial Globus Pharma Uganda Ltd (ekola ne Together Pharma okuva e Israel) nga bagitwala Germany be Canada.
Kkampuni ezaagala okugirima nga zirindirira lukusa kuliko; Natgro Phama (U) Ltd, Medraw (U) SMC Ltd, Urban Properties (U) Ltd, Prime Ranchers, Silver Seeds (U) Ltd, Dave and Dave Group, Seven Blades, Cannops Africa, Quest Worths Initernational Group, Premier Hemp, Sativa Agro-tech Ltd, Zeus Agro Ltd ne Owesia (U) Ltd