KKAMPUNI ETUNDA KABUYONJO NEBIBAJJE OGIWA OTYA KKONTULAKITI Y’OKUZIMBA EDDWALIRO – HON. SILWANY

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Hon. Solomon Silwany avuddeyo nalaga okwemulugunya ku Kkampuni ya Power China international Group eyatuukirira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni agikirize eteeke ssente wamu n’okuzimba enguudo ezimu mu Yuganda.
Ono agamba nti Kkampuni eno terina kuweebwa mulimu gwonna gwakuzimba mulala kuba eremereddwa n’okuzimba Eddwaliro lya Lubowa Hospital.
Hon. Silwany agamba nti bwonoonyereza ku Kkampuni eno batunda bibajje n’abikozesebwa mukuzimba kabuyonjo. Agamba nti bano tebazimbangako yadde oluguudo lwa malamu olumu mu Yuganda oba awalala wonna mu nsi yonna.
#SimbaNews
#PlenaryUg
Share.

Leave A Reply