Breaking
News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta. News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi.
ON NOW Wolokoso ▶ UP NEXT Gasimbagane 10:00 AM - 12:00 PM
Now Playing ยท 1,472 listening Simba FM Live
wolokoso show photo

On Air

Wolokoso

Sula Nsiri - Kalebule

9:00 AM - 10:00 AM 9:00 AM - 10:00 AM

Kkampuni efiirwa (loss) obuwumbi 160 buli mwaka esasula etya abakozi ssente enyingi bwezityo? – Hon. Ssenyonyi

August 16, 2022 · Mubiru Ali
Ababaka abatuula ku kakiiko ka Palamenti aka COSASE bewuunyizza omusaala ogusasulwa abakozi ba Uganda Airlines. Okusinziira ku Mubaka Joel Ssenyonyi agamba nti CEO afuna obukadde 87 buli mwezi, Chief Financial Officer afuna obukadde 73, Manager Finance afuna obukadde 58, Director maintainance afuna obukadde 80, Manager IT afuna obukadde 36, HR afuna obukadde 43, Manager Cargo afuna obukadde 14, Quality Ass. afuna obukadde 43.
Ababaka bagamba nti bewuunya ekitongole ekisalwa obuwumbi 160 buli mwaka kisasula abakozi ensimbi empitirivu bwezityo. Akakiiko era kewuunyizza lwaki bwa Pilot abamu bafuna obukadde 60 buli mwezi buli omu ngate abalala bafuna obukadde 50, Cabin Crew bafuna obukadde 4, ate nga abalala bafuna obukadde 2.
CEO Bamuturaki ategeezezza nti abakola mu Airbus bafuna ensimbi zanjawulo ku zaabo abakola mu CRJ Bombardier.