Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,165 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Kkampuni 8 endala zaagala kusonyiyibwa misolo

August 20, 2024 · Mubiru Ali

Gavumenti esabye Palamenti ekirize kkampuni 8 wamu n’abantu ssekinoomu okusonyiyibwa omusolo oguweza ensimbi obuwumbi 13 mu obukadde 391, nga bano bakosebwa olw’ekirwadde kya COVID-19 ekyagoya ensi wamu n’okubakosa obulamu bwabwe nga abantu. Wabula kinajjukirwa nti Uganda yafiirwa obwesedde 12 mu myaka 5 egiyise nga zino zafiira mu kusonyiwa misolo. Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku by’ensimbi Henry Musasizi afulumizza olukalala nga kuliko; Nkumba University, J2E Investment Corporation Limited, Nicontra Ltd, Kisiizi Hospital Power Ltd, Busoga University, Makerere Business Institute, abasuubuzi Peter Lokwang ne Donati Kananura ng’ensonga gyebawa nti ono alina obulwadde bwa sukaali, kkookolo wamu n’amabanja ga bbanka mangi.
#ffemmwemmweffe