Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso. News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing Simba FM Live

Kkampuni 7 ezibalirira ebitabo ezekikwangala zigaddwa

July 17, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi nga eri wamu ne Institute of Certified Public Accountants bakoze ekikwekweto okufuuza kkampuni ezibala ebitabo ez’ekikwangala mu kampala okukakana nga Kkampuni 7 zigaddwa.

Omwogezi wa Institute of Certified Public Accountants John Ssengendo agamba nti abantu abasoba mu 5000 befuula ababazi b’ebitabo wabula nga tebalina biwandiiko oba license.

Omwogezi w’ekitongole ekikola okunoonyereza ekya CID Vincent Ssekatte agamba nti abantu 12 abakwatiddwa bagenda kutwalibwa mu kkooti bavunaanibwa.

Yagambye nti ebikwekweto bino bigenda kwetoloola eggwanga lyonna.