Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 942 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Kkamera tezaaliko webatomerera Nabukenya – CP Enanga

March 3, 2020 · Mubiru Ali

Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga yavuddeyo nategeeza nga akabenje akaggwawo nga 24 – February – 2020 akaviirako Munnakisinde kya People Power – Uganda eky’omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine, Ritah Nabukenya okufa bwekatakwatibwa Kkamera enkettabikolwa kuba tezaaliko.
Enanga agamba nti Kkamera enkettabikolwa ezo ku luguudo lwa Nakawa – Naguru zaali tezikola olunaku olwo olwokutataaganya kwa ‘Fibre optic cables’ olw’emirimu gy’okukola oluguudo egigenda mu maaso ku luguudo lwa Ntinda โ€“ Nakawa – Naguru stretch. Obuzibu obulala nti buva ku masanyalaze wamu nabateekayo banner ne Billboards, CCTV Camera wezirina okukolerera nebazisiikiriza.
Yategeezezza nga Traffic Police bwetandise okunoonyereza ku kabenje ka Ritah so nga ekya Daniel Kyeyune okukubwa amasasi e Nansana ensonga eyo enoonyerezebwako Regional CID officers ku Kampala Metropolitan Police North.