Kiwanda ne Nabakooba abalonzi babatutte ntyagi

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Abalonzi mu Mityana ey’amambuka balidde obuwuka nebatwala entyagi Omubaka waabwe ow’ekitundu ekyo ate nga ye mubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku by’obulambuzi mu ggwanga, Godfrey Kiwanda Ssuubi wamu n’omubaka omukyala mu Palamenti owa Disitulikiti y’e Mityana, Judith Nabakooba nga babalanga kuwagira kiteeso eky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Kiwanda y’abadde alina okuba omugenyi omukulu ku mukolo gw’okuggulawo oluguudo olubadde luwedde okuddaabirizibwa olwa Kiyogaanyi – Kigalama olusangibwa mu ggombolola y’e Kalangaalo mu Disitulikiti y’e Mityana, wabula abantu olulengedde emmotoka ye ng’eyolekera okutuuka ku mukolo, abantu nebatandika okumukasukira amayinja, okumenya embuukuuli z’emiggo ssaako n’okwogera ebigambo ebisongovu era nebamulemesa okutuuka mu mukolo .
Wabula wayise akaseera katono nnyo n’omubaka Judith Nabakooba n’atuuka era n’ono tebamuganyizza kubaako ky’ayogera.

Share.

Leave A Reply