Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 96 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM
News

Kivumbi sunsula buli kawukuumi ali mu kibiina – Bobi Wine

April 22, 2025 · Mubiru Ali

Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo nasaba Bannakibiina kya NUP okuvaayo besimbewo ku bifo ebyenjawulo mu Ggwanga okwetoloola Eggwanga lyonna. Bino Kyagulanyi abyogedde ayogerako eri Abakulembeze b’ekibiina wamu naabo abegwanyiza tiketi mu bifo ebyenjawulo mu Buganda nga bibadde ku kitebe kya NUP ku Kavule e Makerere.
Kyagulanyi era asabye omumyuuka we owa Buganda Muwanga Kivumbi Muhammad okukuliramu Akakiiko akagenda okususulamu abantu abatuufu era abesigika mu bifo byonna ebiriwo.
Ono ayongeddeko nti babadde bagezaako nnyo okukolagana n’ebibiina ebiri ku ludda oluvuganya nti wabula tebasobodde kufunamu.
Ono agambye nti waliyo Abakulembeze abalungi mu bibiina ebirala nti wabula bwebaba baagala okukolagana ne NUP bagyegatteko.
Muwanga era aweereddwa obuvunaanyizibwa okulaba nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni teyegazanyiza mu Buganda.
Era ono asabiddwa okulaba nti agoba kawukuumi mu kibiina.
Bya Dick Nvule
#ffemmwemmweffe