Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 999 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Kituufu omubaka Ssegiriinya teyagoberera mitendera – Hon. Mpuuga

August 22, 2023 · Mubiru Ali
Akulira Oludda oluwabula Gavumenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba avuddeyo nategeeza Palamenti nti Kkampuni za yinsuwa ezimu ezafunibwa Palamenti okubawa obuweereza bwa yinsuwa y’ebyobulamu eri Ababaka nti zibawa byoya byanswa nga zibawa Panadol yekka so nga ziweebwa ssente mpitirivu.
Okwogera bino abadde ayanukula omumyuuka wa Sipiika Rt. Hon. Thomas Tayebwa ku nsonga z’Omubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegiriinya gwebanenya obutagoberera mitendera gya Palamenti egiyitwamu okugenda okufuna obujanjabi ebweru w’Eggwanga singa Palamenti enaaba enamusasulira.