Kitatta amiddwa beyiro

Kkooti y’ekinnamagye etuula e makindye ekulemberwa Lt. Gen. Andrew Guti ekalambidde ku ky’okuyimbira Abudallah Kitatta Omuyima wa Boda Boda 2010 kukakalu ka Kkooti kuba emisango egimuvunnaanibwa gya Naggomola nga singa guba gumuse mu vvi ayolekedde okusibwa amayisa nga ayinza obutadda mu kkooti singa aba yeyimiriddwa

Lt. Gen Guti era agamba n’enkoolagana ey’enjawulo Kitatta gy’alina ne Poliisi yalitataganya okunoonyereza okugenda mu maaso n’okutiisatiisa abajulizi.

Kkooti era ekizudde nti nababadde bazze okweyimirira Kitatta bantu bawansi era ababulijjo abatasobola kumuwaliriza kudda mu kkooti mu kiseera weyetaagirwa.

Aziddwa ku limanda e Makindye okutuusa nga 12 – June – 2018

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
zaake aweereddwa bail