Breaking
News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka gomugenzi Alex Mukulu, okukubagiza abenju nabooluganda olwokuviibwako News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing · 726 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Kitatta ajulidde ku kibonerezo ekyamuweebwa

September 12, 2019 · Mubiru Ali
Omuyima wa Boda Boda 2010 Hajji Abdullah Kitatta alabiseeko mu maaso ga Kkooti y’amaggye e Makindye nga awakanya ekibonerezo eky’emyaka 8 ekyamuweebwa olw’okusangibwa n’emmundu nga tazirina mu mateeka.
Kitatta wamu neyali omukuumi we Detective Constable Ngobi Sowali bataddewo ensonga 8 kwebasabira omulamuzi Elly Turyamubona nga yatuula ku Kkooti eno yekka mu kakiiko akajulirirwamu okukendeeza ku kibonerezo ekyabaweebwa kyebagamba nti kinene nnyo.
 
Ababiri bano baagala omulamuzi Turyamubona baagala akendeeze ku kibonerezo ky’emyaka 8 emyeezi 8 ne naku 6 babaweemu ekibonerezo ekisaamusaamu. Kitatta ne Ngobi era bagamba nti abantu 7 abatuula ku kakiiko ka kkooti eno nga bakulemberwamu Lt. Andrew Gutti balemererwa okuleeta abajulizi abetengeredde ekyabalemesa okutuuka ku kusalawo okutuufu.
 
Wabula Omulamuzi Turyamubona tasobodde kuwuliriza nsonga zabano olwokuba Munnamateeka waabwe Isaac Julungo abadde teyetegese.