Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Awali Omukka
Now Playing · 199 listening Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM

Kitalo! Takisi etomedde 3 Ssemuto nebafiirawo

September 12, 2023 · Mubiru Ali
Kitalo!
Abantu 3 okuli owa booda booda 1 n’abasaabaze be 2 bafiiriddewo mbulaga mu kiro ekikeesezza olwaleero mu kabenje akagudde ku luguudo lwa Ssemuto mu ttawuni ye Gombe ekisangibwa mu Disitulikiti y’e Wakiso, takisa nnamba UAD 351G ebadde ewenyuuka obuweewo bwebasaabadde.
Abafudde kuliko: Alex Kimuli 26 abadde mugoba wa Booda Booda ku siteegi y’e Matugga-Mabanda, Mukiriza Milly myaka 24 abadde wa mobile money e Kawanda, ne Mugabi Charles ow’emyaka 30, nga mutuuze mu Distulikiti y’e Mukono.
Ababaddewo bagamba nti owa bodaboda abadde agezaako kuyisa ekimotoka ekimubadde mu maaso eby’embi kwekwambalagana ne takisi ebadde ettisse abasaabaze ng’eva Kampala edda e Ssemuto.