Kitalo!
Omusirikale w’eggye lya @Uganda People’s Defence Forces e Gulu mu kiro ekikeeseza olwaleero yakubye Abantu 4 amasasi basatu nabattirawo omu naddusibwa mu Ddwaliro nga biwala ttaka.
Abafudde kuliko; Ajok Beatrice 52, Joakim Dan Binyang 18 ne Owen Norman 20, nga muyizi wa S.6 mu Pope John Paul Nakaseke. Ye Apwoyo Rwot Peace 8 , ye yaddusiddwa mu St Mary’s Hospital Lacor okujjanjabwa.
Cpl Okello Geoffrey nga ali mu kibinja eky’okuna e Gulu ye yakubye Abantu amasasi mu Vanguard Subward, Vanguard Parish Pece Div, Gulu Municipality.
Ono olwamaze okukuba Abantu amasasi nabinyika mu nsuwa era nga kati anoonyezebwa.
Kitalo! Owa UPDF asse basatu e Gulu

