Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 248 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Kitalo! Owa Takisi atomedde abalamazi e Iganga

May 26, 2019 · Mubiru Ali

Kitalo!
Takisi nnamba UBD 860W etomedde abalamazi abava e Kenya okujja e Namugongo 2 nebattirawo n’abalala 2 babiri bafiiridde mu ddwaliro gyebaddusibwa nga biwala ttaka nga kati abakyapookya n’ebiwundu bali 4.
Abalamazi okuva e Kenya batandika okutambula nga 16/5/2019 era nga olunaku lw’eggulo lwebatuuse e Iganga ne bebaka ku St. Peters Claver webaviiridde beyongereyo nolugendo lwabwe

Wabula bwebabade bakatuka e Bulanga mu Disitulikiti y’e Mayuge takisi eyabadde Eva e Jinja kwekubatomera. Abafudde kuliko Roseline Wanjala ne Goefffrey Ogwanga bombi nga bava mu Anglican Diocese of Bungoma mu Kenya.
Beatrice Nalongo okuva mu Poliisi y’ebidduka agamba nti ddereeva wa takiso yakwatiddwa nga n’emotoka naye etwaliddwa ku Poliisi.