Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 159 listening Simba FM Live
News

Kitalo! Omusirikale wa Poliisi yekubye amasasi e Kassanda

May 24, 2023 · Mubiru Ali
Kitalo!
Uganda Police Force mu Disitulikiti y’e Kassanda etandise okunoonyereza ku kyaviiriddeko omusirikale waayo okutuuka okwekuba amasasi agamutiddewo.
Okusinziira ku mwogezi wa Poliisi ow’ettunduttundu lya Wamala APS Racheal Kawala, enjega eno yaguddewo ku Makokoto Police Post, No. 1037 Police Constable Alex Kitiyo 47, ku ssaawa nga kumineemu ezookumakya mu ttawuni y’e Makokota PC Kityo yazuukuse nakuba amasasi agawerako mu kisenge mukama we akulira Police Post eno Inspector of Police John Kakooza nga talina kyayogera, oluvannyuma azzeeyo ku kitanda kye neyekuba amasasi agamutiddewo.