Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 203 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM
News

Kitalo! Omusajja atamyeeko mukyala we omutwe e Katwe

September 9, 2024 · Mubiru Ali

Kitalo!
Omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango ategeezezza nga bwewaliwo ettemu eribadde e Katwe mu Kampala, omusajja ategeerekeseeko erya Kude ngali wakati w’emyaka 20-25 bwetamyeeko mukyala we Sharon Rukundo 19, omutwe. Bano nga batuuze b’omu Jjuuko Zone e Katwe mu Makindye Division nga babadde babadde mu bufumbo emyaka 2 nga balina n’omwana omu babadde nga balwanagana entakera nti era Rukundo yasalawo okunoba wiiki 2 eziyise natandika okubeera ne Ssenga we.
Kigambibwa nti enkya yaleero Kude yatiisizzatiisizza mukyala we gweyasanze ku wooteeri ya Ssenge we gyabadde akola okumutta nti era oluvannyuma amulumbye namutemako omutwe.
Abatuuze bagobye Kude nebamukuba okutuusa lwebamusse naye. Emirambo gyabano gitwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro ekkulu e Mulago.