Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 132 listening Simba FM Live
News

Kitalo! Omuntu omu afiiridde mu kabenje e Mpigi

May 26, 2025 · Mubiru Ali

Kitalo!
Omwogezi wa Poliisi y’ebidduka SP kananura Michael avuddeyo nategeeza nga omuntu 1 yakakasiddwa okuba nga afudde n’abalala 6 nebalumizibwa mu kabenje akagudde olunaku lw’eggulo nga 25-May-2025 ku ssaawa nga kumineemu ezoolweggulo mu Kibira Lwafumu e Bunjakko-Buwama mu Disitulikiti y’e Mpigi. Akabenje kabaddemu emotoka eyakazibwako erya Drone nnamba UBM 672G nga ddereeva waayo olwamaze okukola akabenja nadduka. Okunoonyereza kulaga nti ddereeva wa Drone yabadde avuga bubi ngera atisse abasaabaze mu ngeri eyobulabe emotoka nemulemerera nettomera pavement neyefuula neggwa nettirawo omuntu 1.
Poliisi e Lungala yabadde yagyemulugunyizzaako nendala 3 okuli; UBG 649K, UBM 631E ne UAR 351Z ezaakwatiddwa olwokumenya amateeka g’ebidduka okuli; #BreachofOperatorsLicence #Carryingpassengersinunsafepositions #Carelessdriving #Obscuredregistrationplates ba ddereeva baazo bakwatiddwa nebaggalirwa ku Poliisi e Mpigi wabula ddereeva wa UBM 672G n’emotoka endala bagaanye okuyimirira.
#ffemmwemmweffe