Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 684 listening Simba FM Live

Kitalo! Omuntu omu afiiridde mu kabenje

April 23, 2020 · Mubiru Ali

Kitalo!

Omuntu omu yafiiriddewo mbulaga mu kabenje akagudde ku luguudo lw’entebe, loole ekika kya Sino Truck bweyagaanye okusiba netomera booda booda bbiri.Akabenje kano kagudde Katale e Lweza Sino Truck nnamba UAY 988G nga myuufu yatomedde booda booda nnamba UEL 809T Bajaj Boxer nga myuufu nga eyagibaddeko Kiyenge Tony 43, nga mutuuze w’e Sseguku ye teyalutonze.Booda booda endala nnamba UEG 524G Bajaj Boxer nga myuufu eyagibaddeko Nabongo Denis nga mutuuze w’e Ndejje ye yasimattuse nga tafunye yadde ekisago.Omugoba w’emotoka eno olwamaze okukola akabenje nabulawo era nga Uganda Police Force emuwenja nga kigambibwa nti yabadde avugisa kimama.
📸 Kampala Metropolitan Police