Breaking
News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu! News: Ekimotoka kyenkokoto ekya Hardware World kyabuddeko mixer neggwa eri olunaku lweggulo! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 300 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Kitalo! Omuliro gusse abaana 4 ku Kibedi Day and Boarding Primary Sch e Kawempe

January 15, 2022 · Mubiru Ali
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi bwetandise okunoonyereza ekyaviiriddeko omuliro ogwakutte essomero lya New Crest Junior at Kibedi Day and boarding Primary School mu Kawempe Division Kampala City, abaana 4 abawala gyebakakasiddwa nti bafiiridde mu muliro ogwakutte ekisulo ku ssaawa nga mwenda ogw’ekiro okuva mu kisulo ky’abaana abawala n’abalala 3 nebalumizibwa byansusso.
Luke agamba nti bano basobodde okwezikiririza omuliro guno nti era tebategeezezza Poliisi y’e Kawempe ebali okumpi ekikolwa ekyobulagajjavu ekyaviiriddeko abaana 4 okufa n’abalala okulumizibwa.
Fayiro y’omusango gw’obulagajjavu eguddwawo ku Poliisi e Kawempe.