Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 256 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Kitalo! Omukuumi w’omubaka w’e Buvuma akubye omutuuze essasi

May 26, 2019 · Mubiru Ali

Omukuumi w’omubaka Omukyala akiikirira Buvuma Jennifer Egunyu Nantume Munnakibiina, akubye omutuuze Mwadiki Sadik Kizito esasi namuttirawo. Omubaka abadde agenze ku mwalo gw’e Kiziba mu Gombolola y’e Bugaya mu Buvuma okukola emirimu gy’ekitundu kyakiikirira.
Okusinziira kubabaddewo bagamba nti wabaddewo abavubuka ababadde bekalakaasa nga bawakanya okukyala kw’omubaka ono gwebagamba nti amaze omwaka mulamba nga tadda gyebali kati kiki ekibadde kimututteyo. Omubaka abadde atutte byalaani okubigabira abatuuze wabula abavubuka nebatandika okuwanyisiganya naye ebigambo nti era wano Kizito wasitulidde omuzindaalo omubaka kwabadde ayogerera agutwale ku lyato kwagidde, omukuumi w’omubaka agyeeyo Pistol nakuba amasasi mubbanga okugumbulula abavubuka wabula neberema nga balumba omubaka bwatyo omukuumi nawalirizibwa okukubako omu amasasi mukamwa agamutiddewo.
Omukuumi awalirizza Omubaka okudda mu lyato nebejjawo. Atiddwa abadde Ssentebe was National Resistance Movement – NRM owa Ndwasi era Imam w’e Kizinga.