Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing ยท 690 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Kitalo! Omukuumi asse omuntu lwakulubula motoka

July 9, 2019 · Mubiru Ali

Kitalo!

Nannyini bbaala ya Hickory Bar and Restaurant esangibwa e Kololo Arnold Mugisha akubiddwa amasasi agamutiddewo enkya yaleero ku Quality Shopping Village e Naalya. Mugisha atiddwa omukuumi okuva mu kkampuni ya Saracen nga amulanga okukulubula emotoka nakaggaali k’ebintu aka Super Market ate nagenda bugenzi.

Kigambibwa nti Mugisha nga ali ne munne bawanyisiganyizza ebigambo n’omukuumi nga abanenya okukulubula emotoka ebadde mu Parking.

Omukuumi oluvannyuma lw’okutta Mugisha agezezaako okudduka wabula abantu nebamukwata nebatandika okumukuba naye nebamutta. Emirambo gyombi gitwaliddwa e Mulago. Abamu ku babaddewo bagamba nti Mugisha abadde ava mu Gym ne muganda we nebagenda mu Super Market okugula ebintu.