Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 233 listening Simba FM Live
News

Kitalo! Omukuumi akubye munne essasi e Tororo

May 17, 2023 · Mubiru Ali
Kitalo!
Omukuumi wa Kkampuni eyobwannanyini eya Saracen Uganda Limited Moses Okedi akubye munne John Okudi amasasi agamutiddewo e Tororo oluvannyuma lw’okufunamu obutakkaanya nga bakuuma ekimu ku bifo ebisuulwamu ebya kampuni ya Tororo Cement Limited.
Uganda Police Force ekutte Okedi n’omulala Robert Ejumu bagiyambeko mukunoonyereza ku kituufu ekyatuuseewo.
Claire Adikin ngono mulirwana waabwe agamba nti awulidde omuntu abadde ayogerera waggulu newayitawo akaseera katono nawulira ngessasi livuga, era agenze okutuukawo nasanga ng’omu ku bakuumi afudde era nategeeza mangu Poliisi.
DPC wa Tororo Adamu Kimuli ategeezezza nti bakutte abantu 2 babayambeko mukunoonyereza era Okedi aguddwako omusango gw’obutemu wamu n’okukozesa obubi emmundu.
Kevin Mwambu, Area manager wa Saracen Uganda LTD ategeezezza nti kino kibakanze nnyo kuba bano babadde bakola bombi era nga tebafunangayo kwemulugunya kwonna.