Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 670 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Kitalo! Omukazi afiiridde mu Ddwaliro e Mityana lwabutaba na ssente

June 12, 2019 · Mubiru Ali

Kitalo!

Waliwo omukazi atemera mu gy’obukulu 19 afiiridde mu Ddwaliro ekkulu
e Mityana ng’ono kigambibwa nti abasawo bamulagajalidde okumukolako nga baagala asooke abawe ensimbi eziwerela ddala emitwalo 35 okusobola
okumulongoosa ekyenda ekibadde kyesibye.

Sylvia Nantongo 19, ng’ono yavudde ku kyalo
Mutetema mu Gomboloola y’e Kalangaalo mu Disitulikiti y’e Mityana yafiiridde
mu Ddwaliro ekkulu e Mityana ng’ono kigambibwa nti yabadde yesibye
ekyenda nga yetaaga okulongosebwa kyokka abasawo kwekusooka basabe
emitwalo gyensimbi 35 okumulongoosa  nga mukiseera ekyo ensimbi
abajanjabi babadde tebazirinawo.

Joyce Nantale ng’ono ye Maama w’omugenzi agamba nti yegayiridde
abasawo bakole ku mulwadde nga naye bwanoonya ensimbi kyokka neberema.