Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 189 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Kitalo! Omu afiiridde mu kabenje e Rukiga

May 6, 2019 · Mubiru Ali

Kitalo!
Tana Twinomugisha, nga musuubuzi era omutuuze w’e Nyakafura mu Ibumba Parish e Rwamucucu mu Diditulikiti y’e Rukiga yafiiridde mu kabenje ka motoka ate abantu abalala 4 nebalumizibwa ku luguudo oluva e Kabale okudda e Rushebeya.
Abalumiziddwa kuliko muganda w’omugenzi, Tanavensio Byamukama, Joram Bakuza, nga musomesa ku Kantare Secondary School e Kashambya ne Alban Tumwekwase, omusuubuzi e Rushebeya trading center mu Kitojo parish wamu n’omulala atanategeerekeka.
Akabenje kaguddewo oluvannyuma lw’emotoka ekika kya Toyota Kluger nnamba UBD 630K eyabadde evugibwa omugenzi okumulemerera mukkoona negwa neyefuula. Abalumiziddwa badusiddwa mu Kabale Regional Referral Hospital.