Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 237 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Kitalo! Munna UPC Bbosa afudde

October 1, 2019 · Mubiru Ali
Kitalo!
Eyaliko Vice President w’ekibiina ekivuganya Gavumenti ekya Uganda People’s Congress Joseph Bbosa afudde. Bbosa era y’e Mwami w’Omulamuzi Justice Solome Balungi Bbosa ali mu Kkooti ya International Criminal Court.
Okusinziira ku Solomon Muyita, omwogezi w’essiga eddamuzi agambye nti Bbosa yafiiridde mu Hague, e Netherlands. Bbosa yafuuka Pulezidenti wa UPC Dr Olara Otunnu bweyadda ebbali nga 26 – May – 2016 okuleka okulonda okubaawo gyebyagwera nga UPC ekutuseemu ebiwayi bibiri ekya Akena ne Bbosa.