Breaking
News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba! News: Omuyambi wa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye bwebavunaanibwa mu Kkooti Enkulu, Hajj.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 367 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

KITALO! EYAFUNYE OBUBONERO 25 YETUZE NGA AKOOYE OKUMUYEEYA

July 21, 2021 · Mubiru Ali
Kitalo!
Omuyizi ow’emyaka 15 ku ssomero lya Bwikya Muslim Primary School mu Kibuga Hoima eyafunye obubonero 25 mu Primary Leaving Examinations (PLE) yetuze olwokumuyeeya nti yasomye bubi.
Aboluganda lwa Daphine Kimuli 15, bategeezeza Uganda Police Force nti Daphine yabuze okuva awaka enaku 3 oluvanyuma lw’ekitongole ky’ebigezo ekya Uganda National Examinations Board – UNEB okufulumya ebyava mu bigezo bya P7 ebya 2020. Aba Famire bagezaako okumunoonya nabula.
Omulambo gwe gusangiddwa nga gulengejja ku muti gwa ffene enkya yaleero okuliraana ewaabwe nga gusangiddwa muliranwa owemyaka 35 okusinziira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Hoima Julius Hakiza.