Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 245 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Kitalo! Ekikomera kikubye ennyumba nekitta 5

May 26, 2019 · Mubiru Ali

Kitalo!
Abantu 5 okuva mu nnyumba emu bafiiriddewo mbulaga oluvannyuma lwa namutikwa w’enkuba akedde okufuddemba nasuula ekikomera ekirinaanye ennyumba mwebabadde basula.
Abatuuze b’e Bunnamwaya – Lubowa mu Ggombolola y’e Ndejje mu Disitulikiti y’e Wakiso be bakeeredde mu ntiisa ekikomera kyamuliranwa wa Hajji Adinali Kayongo bwekikuba ennyumba ye okukakana nga Mukyala we n’abaana 4 bafiiridde mu.
Abafudde kuliko, Aisha Nasali 46, Muzafaru Muzzanganda 15 wabula nga ono ye omulambo gwe nokutuusa kati tegunajibwa mafunfugu. Ye Shiek Adinana asimatusse okuffiira mu nnyumba eno kuba abadde akedde kugenda kusaala ku muzikiti.