Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing ยท 743 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Kitalo! Basse owa Mobile Money omulala e Mukono

July 10, 2019 · Mubiru Ali

Kitalo!
Owa Mobile Money omulala atiddwa mu bukambwe e Mukono. Rebecca Namugaanyi 22, nga nzaalwa y’e Ngogwe mu Disitulikiti y’e Buikwe nga abadde akolera ku kyalo Kapeke, mu Gobolola y’e Nama mu Disitulikiti y’e Mukono yeyatiddwa.
Abamusse bamusaze obulago, omulambo gwe nebaguleka mu nnyumba gyabadde ampangisa. Baliraanwa ba Namugaanyi bagamba nti ono yafuna omugenyi omusajja ku bbalaza era nga bamala akabanga akawerako naye mu dduuka lye erya Mobile Money, Alice Nakku omu ku baliraanwa ba Namugaanyi agamba nti omugenyi basuubira nti yali muganzi we.
Kigambibwa nti obudde bwebwaziba, Namugaanyi n’omugenyi we nebaggalawo edduuka nebagenda okwebaka wabula kyabewuunyisizza ate ku makya okumusanga nga bamusaze obulago.