Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 485 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Kitalo! Babiri bafiiridde mu kabenje e Kisoro

June 18, 2019 · Mubiru Ali
Kitalo!
Abantu babiri bafiiriddewo mbulaga oluvannyuma lwa piki piki kwebabadde okubalemerera mukoona nebaggwa mu mwala gyebatomeredde ekigoma. Abafudde kuliko Habumugisha Emmanuel 19 nga mutuuze w’e Matinza, mu Muluka gw’e Rwengwe, mu gombolola Nyakabande ne Ndayizeye Cosma 17 nga makanika omutuuze w’e Mogombwa mu muluka gw’e Nyakabanda mu disirulikiti y’e Kisoro. Akabenje kagudde ku luguudo oluva e Kisoro okudda e Mutolere.
Bano babadde batambulira ku piki piki nnamba UDH 106B nga kigambibwa nti akabenje kavudde kukuvuga ndiima.