Breaking
News: Two children were killed and three others injured in a stabbing attack at Kalungu Bunga, Ggaba Parish in Makindye Division early Thursday morning. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka gomugenzi Alex Mukulu, okukubagiza abenju nabooluganda olwokuviibwako News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 396 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Kitalo! Babiri bafiiridde mu kabenje e Kayunga

September 14, 2019 · Mubiru Ali
Kitalo!
Abantu babiri baffiiriddewo mbulaga oluvannyuma lw’okutomerwa mmotoka ebadde ewenyuuka emizibu nga n’okutuuka okubatomera ebalumbye ku stage ya boda boda kwebabadde bayimiridde. Abafudde kuliko; Nangoli Matia nga ono abadde muvuzi wa boda boda ku stage y’e Bugiri ku luguudo oluva e Bukolooto okuda e Njeru ne Nasonjo Jesca nga ono abadde musaabaze nga yakajja ave mu takisi emujje mu bitundu by’e Jinja nga mukiseera ekyo abadde ali mukuteeseganya n’owa boda boda asobole okumutwala ewuwe ku kyalo Nakatovu mu Gombolola y’e Nazigo. Ababaddewo nga akabenje kano nga kugwaawo bategezezza nti omugoba wa mmotoka nnamba UBF 060F ey’ekika kya Landcruiser Toyota Prado TX, olumaze okutomera mmotoka ginaayo ey’ekika kya Double Cabin eyekitongole kya Uganda Revenue Authority (URA) nnamba UAJ 442X emulemeredde nerumba ababadde emabbali g’ekubo.