Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya twolekedde Akaseerezi era ku nnya ekiro lindirira enkabikkabi zabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Enkuba ekedde okutonnya etaataganyizza omulimu gwokutambuza ebigezo bya Siniya eyookuna. News: Hon. Zambaali Bulasio Mukasa
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 355 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Kitalo! Abayizi 3 batomeddwa emipiira egibuuse ku motoka nebafiirawo

April 12, 2023 · Mubiru Ali
Kitalo!
Abaana basatu batomeddwa emipiira gya tuleela egibuuseeko nebafiirawo. Tuleela nnamba UBH 126J/UAX012V ebadde eva Tororo ng’edda Mbale yebusseko emipiiira negitomera abayizi abayizi 3 nebafiirawo.
Abafudde ye; Namugosa Shakira 9 ng’abadde asomera ku Malukhu Primary school, Wasike Jane 3 ne Wasike Grace 12 nga bano bombi babadde bayizi ku Nabuyonga Primary School mu disitulikiti ye Mbale.
Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Police Force ekivunaanyizibwa ku bidduka mu ggwanga, Faridah Nampiima ategeezezza nti omugoba w’emotoka eno, Lukenge Geoffrey akwatiddwa abayambeko mukunoonyereza.