Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 1,237 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM
Sports

Kitalo! Abawagizi ba Buddu 2 bakubiddwa amasasi agabatiddewo

June 30, 2019 · Mubiru Ali

Kitalo!
Abawagizi ba ttiimu y’essaza lya Buddu 2 bakubiddwa amasasi agabatiddewo n’abalala nebabuukawo n’ebisago Buddu bwebadde esamba ne Mawokota.
Kigambibwa nti Poliisi n’eggye lya UPDF babadde bagezaako okukkakanya abawagizi ba Buddu ababadde bataamye obugo oluvannyuma lwa Ddiifiri okubamma ppenati bbo gyebagamba nti ebaddeyo bwetyo Mawokota nebawangula ggoolo 1-0.
N’ekirala abategesi bayongezza ebisale byokuyingira okuva ku 5,000/= nebazza ku 10,000/=, abawagizi ba Buddu basabya abategesi okubasalirako nga buterere.