Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Gasimbagane ▶ UP NEXT Weekend Taxi 12:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 1,102 listening Simba FM Live
gasimbagane show photo

On Air

Gasimbagane

Peter Kibazo

10:00 AM - 12:00 PM 10:00 AM - 12:00 PM

Kitalo! Abasirikale ba Poliisi 2 n’omusibe bafiiridde mu kabenje

July 2, 2020 · Mubiru Ali
Kitalo!
Abasirikale ba Uganda Police Force babiri wamu n’omusibe bafiiridde mu kabenje e Magamaga ku luguudo oluva e Iganga okudda e Jinja enkya yaleero.
Emotoka ekika kya Premio nnamba UBF 837K silver ebadde evugibwa omuntu atanategeerekeka etomereganye bwenyi ku bwenyi ne tuleera nnamba KCQ 638C /ZC 738 Foton n’oluvannyuma nerumba kabangali ya Poliisi nnamba UP 7483.
Abafiiriddewo kubaddeko; D/ AIP Mawa Emmanuel nga akola mu General Crime ku kitebe kya CID, D/Sgt Magara Dick okuva mu General Crime ku kitebe kya CID ne Wadambwa phillip omusibe abadde atwalibwa. Akabenje kaguddewo ssaawa kumineemu ez’okumakya olwaleero.