Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana- Ebyenfuna bya Uganda byadobonkana dda! Emyaka 40 bayimba oluyimba lwe lumu! News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 137 listening Simba FM Live

Kitalo! Abasirikale ba Poliisi 2 batiddwa e Busiika mubulumbaganyi obukoleddwa ku Poliisi

November 2, 2022 · Mubiru Ali
Kitalo!
Abatamanyangamba abatanategeerekeka ababadde babagalidde emigemera wala balumbye Uganda Police Force y’e Busiika olunaku lw’eggulo ku ssaawa ng’emu n’ekitundu nebatta abasirikale ba Poliisi 2 nebalumya n’abalala 2 n’oluvannyuma nebanyaga emmundu 2.
Ebyakanoonyerezebwako biraga nti bano babadde nga 7 nga bavudde mu njuyi 3, ebibinja 2 byavudde mu maaso ate ekimu mabega nga babadde ne basitoola wamu n’emmundu.
Basse D/IP Wagaluka Alex, in-charge CID ne PC Ongol Moses, era ne balumya ne PC Ochom Adrian wamu ne PC Odama Stephen ngali mu mbeera mbi nnyo mu ddwaliro lya Bombo Military General Hospital, bano era bayokyezza fayiro zemisango eziwerako era nga bagezezzaako n’okuteekera Poliisi eno omuliro wabula ngabatuuze ba Busiika Town Council baguzikizza.