Breaking
News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba! News: Omuyambi wa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye bwebavunaanibwa mu Kkooti Enkulu, Hajj.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 348 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

kitalo! abantu abasoba mu 150 bafiiridde mu kabenje k’ennyonyi

March 10, 2019 · Mubiru Ali

Kitalo!

Ennyonyi ya Kkampuni ya Ethiopian Airlines Boeing 737 Max 8 nga yabadde eva mu kibuga Addis Ababa okwolekera Nairobi nga eriko abasaabaze 149 wamu n’abawereza 8 yagudde enkya yaleero nga n’amawulire agavaayo galaga nti mpaawo muntu yasimattuse.

Omwogezi wa Ethiopian Airways ategeezezza nti abantu abafiiridde ku nnyonyi eno bava mu nsi 33.

Ennyonyi eno yasimbudde ku kisaawe kya Bole International Airport ku ssaawa bbiri ez’okumakya wabula mu ddakiika mukaaga ezazeeko teyazeemu kumanyibwako bigikwatako nga kigambibwa yagudde okuliraana Bishoftu ekibuga ekiri kiromita 60 ze mayiro 37 okuva mu kibuga Addis Ababa nga okozesa luguudo.

Ssaabaminisita wa Ethiopia avuddeyo nasaasira ab’enganda z’abantu bonna ababadde ku nnyonyi eno. Ennyonyi eno ky’ekika kyekimu n’ennyonyi ya Indonesia Lion Air Jet eyaggwa mu October 2018 eddakiika 13 zokka nga yakasitula okuva mu kibuga Jakarta netta abantu 189 abagiriko.