Breaking
News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta. News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi.
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 1,071 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

Kitalo! Abantu 9 bafiiridde mu kabenje ku luguudo lw’e Bombo

July 10, 2022 · Mubiru Ali
Kitalo!
Abantu 9 bafiiridde mu Kabenje ku luguudo lw’e Bombo 5 nebalumizibwa byansusso. Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Police Force ekikola ku bidduka ASP Faridah Nampiima avuddeyo nategeeza nga Poliisi y’okukyalo Sinalya, e Kalule ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu mu Disitulikiti y’e Luweero bweyategeezeddwako olunaku lw’eggulo ku kabenje akafiiriddemu abantu ku ssaawa nga munaana n’eddakiika 10.
Motoka bbiri okwabadde Toyota Hiace nnamba UBD 850J, ne UAH 316P, Isuzu Elf bwezatomereganye oluvannyuma lwa Takisi nnamba UBD 850J eyabadde ewenyuuka obuweewo okwabika omupiira ngeserengeta mu kisenyi ky’e Sinalya neremerera omugoba waayo neyefuula netomeregana ne ELF naye neyefuula. Abasabaze nga kuliko abakyala 7 n’omwami omu bebafiiriddewo mbulaga mu Takisi ng’omukyala omulala yafudde atwalibwa mu Ddwaliro e Mulago.