Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 178 listening Simba FM Live

Kitalo! Abantu 8 bafiiridde mu kabenje k’eryato ku nnyanja Albert

May 24, 2020 · Mubiru Ali

Kitalo!
Abantu 8 bafiiridde mu kabenje k’eryato ku Nnyanja Albert. Akabenje kano kaguddewo mu ttuntu lyaleero eryato eribadde litisse abantu 18 bweribidde okuliraana omwalo gw’e Busiigi mu Ggombolola y’e Kabwoya mu Disitulikiti y’e Kikuube.
Eryato lino libadde liva ku mwalo gw’e Kyenyanja mu Ggombolola y’e Kabwoya nga lyolekedde mwalo ggwe Kyakapere mu Ggombolola y’e Kyangwali. Abamu ku babadde ku lyato lino be Bantu abagobeddwa eggye lya Uganda Peoples’ Defence Forces – UPDF okuva mwalo gw’e Kyenyanja nga kigambibwa nti gwegumu ku myalo egitali mu mateeka.
Bano okugobwa kidiridde ekiragiro kya Gavumenti ekyokuggalawo emyalo egitali mu mateeka ku nnyanja Albert nga gisoba mu 200 nga kigambibwa nti gino gibadde giwe ekyanya Bannansi ba Congo okuyingira mu Ggwanga mu ngeri emenya amateeka naddala mukadde kano aka ‘lockdown.
10 ku bantu 18 ababadde ku lyato lino bataasiddwa bavubi banaabwe abazze okubataasa nga bawulidde enduulu.
📸 Uganda Radio Network