Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana- Ebyenfuna bya Uganda byadobonkana dda! Emyaka 40 bayimba oluyimba lwe lumu! News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta.
ON NOW Ebifudde mu wiiki ▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 403 listening Simba FM Live

On Air

Ebifudde mu wiiki

News Team

9:00 AM - 12:00 PM 9:00 AM - 12:00 PM

Kitalo, abantu 5 bafiiridde mu muliro e Bukasa

November 23, 2022 · Mubiru Ali

Kitalo!
Abantu 5 bafiiridde mu muliro ogukutte ennyumba mwebasula mu kiro ekikeesezza olwaleero ku ssaawa nga 8 nga bebasse. Ekikangabwa kino kigudde ku kyalo Yoka, e Bukasa mu Kampala Ssemaka, Steven Luyomba 50, mukyala we Doreen Nafula 35, wamu n’abaana baabwe 3 okuli ow’emyaka 15, 16 n’omulala omu. Kigambibwa nti omuliro ogukutte ennyumba mwebabadde basula guvudde ku musubbaawa ogwalekeddwa nga gwaka.