Breaking
News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze News: Shakirah Namutebi nga wa myaka 24, yakwatiddwa Uganda Police Force nga kigambibwa nti asangiddwa ne ttivvi enzibe.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 232 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Kitalo! Abantu 5 bafiiridde mu kabenje e Namutumba

January 8, 2021 · Mubiru Ali
Kitalo!
Abantu 5 okuva mu nnyumba emu olunaku olwaleero bafiiridde mu kabenje ku luguudo lwa Iganga-Tirinyi-Mbale mu Jaruko Trading Center. Okusinziira ku Uganda Police Force ey’e Namutumba kigambibwa nti bano bavudde mu Bugembe Ward mu Kibuga Jinja nga babadde bagenda kuziika ow’oluganda lwabwe e Budaka.
Abafudde kuliko; Mariam Musenero, Nasiru Musenero, Madina Sabano, Sula Kungu ne Khalifa Waira nga babadde batambulira mu motoka ekika kya Subaru nnamba UBE 360N eyayingiridde Wheel Loader eya kkampuni ya Dot Services UAX 635Q.
Kigambibwa nti Ddereeva wa Subaru yabadde avuga sipiidi nayingirira Wheel Loader eyabadde ekozesebwa okudaabiriza oluguudo lwa Mbale-Tirinyi.