Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 515 listening Simba FM Live

Kitalo! Abantu 5 bafiiridde mu kabenje e Namataba

April 25, 2020 · Mubiru Ali

Kitalo!

Abantu 5 bafiiridde mu kabenje emotoka 4 bwezitomereganye ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja. Akabenje kano kaguddewo ku ssaawa bbiri ez’okumakya e Kayanja, Namataba mu Disitulikiti y’e Mukono Tata ebadde etisse ebikajjo bwetomereganye ne Fuso ebadde etisse emitayimbwa nga eyolekera Kampala.Mu kifo kyekimu owa Isuzu Elf atobedde Pickup bwabadde agezaako okwewoma loole ne Fuso ezabadde zetomedde edda. Abantu 3 ababadde ku loole n’ababiri ababadde mu Fuso bafiiriddewo mbulaga.Okusinziira ku mwogezi wa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango agamba nti Omugoba wa FUSO yamulemeredde bweyabadde agezaako okuyisa emotoka endala bwatyo natomeregana bwenyi ku bwenyi ne Tata y’ebikajjo.