Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 282 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Kitalo! Abantu 4 bafiiridde mu kabenje ku lw’e Masaka

April 18, 2022 · Mubiru Ali
Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Police Force ekivunaanyizibwa ku bidduka Faridah Nampiima, avuddeyo nategeeza nga Poliisi y’e Wamatovu mu Katende ku luguudo oluva e Masaka okudda e Kampala bwetandise okunoonyereza ku kiki ekyaviiriddeko akabenje akafiiriddemu abantu 4 nga kano kaguddewo mu kiro nga 17-April-2022. Kano kabaddemu emotoka ekika kya FUSO box body nnamba UBB 288W piki piki Bajaj Boxer nnamba UDG 002S ne Toyota Premio nnamba UAV 137E.
Abafudde nga bano tebanategeerekeka mannya kuliko omukyala omu, omwana omu omuwala, nabasajja babiri abakulu nga kuliko omuvuzi wa piki piki. Abalumiziddwa abalala 3 baddusiddwa mu malwaliro okufuna obujanjabi.
Piki piki ne Premio byatwaliddwa ku Poliisi e Mpigi, ngenteekateeka zokuggyawo FUSO etisse sseminti zigenda mu maaso.