Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 258 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Kitalo! Abantu 3 bagudde mu nnyanja Nalubaale nebafiirawo

February 16, 2024 · Mubiru Ali

Kitalo!
Abantu 3 okuli; Nnaalongo Achieng, Kabenge ne Kali Smart bafiiridde mu nnyanja Nalubaale ekinaala kwebabadde basaabalira nga kuno babadde batisseeko n’ente bwekyedimye mu nnyanja, ente n’abantu nebafiirawo.
Enjege eno eguddewo mu kiro ekikeesezza olwaleero ku mwalo gw’e Malongo mu bizinga by’e Buvuma. Akabenje kano okuggwayo kigambibwa nti ente zitabukidde ku mazzi neziyuuya ekinaala okukkakana nga kyefudde nekibayiwa mu nnyanja.
Ente 5 zebabadde batwala mu lufula nazo zifiiriddewo. Abadduukirize bannyuluddeyo omulambo gwa Nnaalongo, wabula ngegyabalala 2 teginazuulwa.