Breaking
News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta. News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi.
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 242 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Kitalo! Abantu 2 bafiiridde mu kabenje ku lw’e Masaka

July 3, 2022 · Mubiru Ali
Kitalo!
Abantu 2 bafiiridde mu kabeje ku luguudo lw’e Kampala-Masaka mu Lwera ku ssaawa ng’emu n’ekitundu emotoka ekika kya Prado nnamba UAV 310Y nga ebadde evugibwa Tumusiime William ng’eva Masaka bwetomedde owa booda booda agibadde mu maaso.
Kigambibwa nti owa booda booda Lukyamuzi Samuel 42, abadde mu maaso ga Prado asaze omulundi gumu ekkubo, Ddereeva wa Prado bwagezezzaako okumuwugula emotoka nemulemerera nekoona owa booda booda nafiirawo, omuntu omulala abadde mu Prado ategeerekese nti ye Yesse Mubangizi Kamanyire Director wa Nile High School – Mukono, afudde atuusibwa mu Ddwaliro e Nkozi.
Abantu abalala ababadde mu motoka eno okuli Kasagwa Ephraim 72, aweereddwa ekitanda mu Ddwaliro e Nkozi, ate ye Mugabi Philimon abuseewo n’ebisago bitonotono. Poliisi egamba nti owa booda booda yavuddeko akabenje kano.