Breaking
News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta. News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi.
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 205 listening Simba FM Live

Kitalo! Abagalana babiri basangiddwa nga bafiiridde mu muzigo

July 27, 2022 · Mubiru Ali
Kitalo!
Abatuuze b’omu Mulimira Zone mu Kamwokya baguddemu ekikangabwa enkya yaleero bwebasanze banaabwe babiri nga bafiridde mu nnyumba nga batandise okuvunda oluvannyuma lw’enaku 3 nga tebabalabako.
Tomas Enaku, nga mukuumi mu kitongole kya Trust Security Company, wamu ne muganzi we Filder Akiteng, nga mutunzi wa kyalani bebasangiddwa nga bafiiridde mu buliri mu muzigo gwe babadde bapangisa. Kigambibwa nti omukyala yasembayo kulabibwako wabweru ku Sunday olweggulo.