Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 258 listening Simba FM Live

Kitalo! Abafumbo babiri bafiiridde mu kabenje e Kisoro

June 6, 2020 · Mubiru Ali

Kitalo!
Abafumbo babiri bafiiridde mu kabenje bwebabade bagenda ku mbaga eri ‘scientific’ mu Disitulikiti y’e Kisoro. Hillary Namanya, nga Programs Manager wa Rukundo International, ekitongole ky’obwannakyewa mu Disitulikiti y’e Kabale ne Mukyala we Barbra Natukunda bebafiiridde mu kabenje olunaku lw’eggulo ku ssaawa kumineemu n’ekitundu e Kagano ku luguudo lwa Kabale – Kisoro mu Ggombolola y’e Kanaba oluvannyuma lw’emotoka mwebabadde batambulira ekika kya Toyota Mark II nnamba UAG 044M okuggwa neyevulungula.
OC Traffic owa Poliisi y’e Kisoro William Tumuhairwe agamba nti Natukunda ye yabadde avuga nalemererwa okuweta ekkoona mu ttawuni y’e Kagano.
Bano babadde bagenda ku mbaga ya mukwano gwabwe Nelson Yumvirusaba ne Mukyala we Rachael Guhirwa ku kyalo Gisha mu Ggombolola y’e Murora.