Kitalo!Abantu 15 bebafiiriddewo mbulaga mu kabenje akagudde mu Disitulikiti y’e Mayuge ku kyalo Imanyiro ku luguudo oluva e Musita okudda e Majanji Takisi nnamba UBD 089A bweyingiridde loole TaTa nnamba UWP 616 ebadde yafiiridde ku kubo.Takisi eno ebadde eva Namayingo nga eyolekera Kampala.Abamu ku bafudde abasobodde okutegeerekeka kuliko; Ibrahim Damale ow’e Bamayingo, Were Christine ow’e Namutumba, Musinguzi Micheal ow’e Kampala ne Kansiime Brian ow’e Kyenjojo.

Menu