Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 332 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Kirumira Police emugombyemu obwala

February 1, 2018 · Mubiru Ali

Police enkya ya leero ekedde kuzingako maka g' aduumira Police mu Disitulikiti y'e Buyende, ASP Muhammad Kirumira agasangibwa e Bulenga mu Disitulikiti y'e Wakiso n'ewalirizibwa okusala enzigi okusobola okumuggya mu nju ye mw'abadde yeesibidde.

Kirumira yeesibidde mu nju okuva ku ssaawa kkuminabbiri ez'okumakya oluvannyuma lw'okukitegeera nti abaserikale ba FLYING SQUAD n'abapoliisi abalala baabadde bamaze okugoba mu makaage okumukwata wabula n'abasaba ekiwandiiko ekibawa olukusa okumukwata nga bayanjala ngalo.

Kino kijjide mu kiseera nga akawungeezi ka jjo Afande Kirumira yavuddeyo n'alangirira nga bw'avudde mu kitongole kya Police era agenda kwekolera bintu bye birala omuli okwesimbawo mu by'obufuzi

Wabula mu kiseera nga Police esala oluggi lwe, Kirumira ng'ali mu kyambalo kya Police asobodde okwogerako ne Bannamawulire mu ddirisa n'ategeeza nti yeewunyizza nnyo okuba nti Police ekoze bw'eti n'etamulinda kumukwatira Nagulu gy'abadde agenda okulabikako enkya ya leero  ku misango egimuvunaanibwa