Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 400 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Kirumira awangudde Police ekitundu ekisooka

March 6, 2018 · Mubiru Ali

Eyali aduumira Police mu Disitulikiti y'e Buyende, Muhammad Kirumira awangudde ekitundu ekisooka ku misango egimuvunaanibwa mu kkooti ya Police .

Omu ku batangira obumenyi bw'amateeka (Crime Preventer), Ibrahim Bukenya yali yeemulugunya ku Kirumira nti yamulyako Rolex ye ku kifuba Kirumira bweyali akyakulira Police y'e Nansana mu Disitulikiti y'e Wakiso mu 2013 era bw'atyo (Bukenya) n'alaajanira kkooti eno emuyambe Kirumira asasule.

Wabula ate ekyewuunyisa, olwaleero Kirumira bw'alabiseeko mu kkooti, Bukenya takubiddwako kya mulubaale era bw'atyo omuwaabi wa Police Catherine Kusemererwa ogwo n'agumuggyako. 

Wabula Kirumira akyavunaanibwa emisango emirala mingi.